
Owek. Serwanga ng’ali ne Ssekiboobo mu kutongoza empaka z’omupiira z’eggombolola
Minisita w’Ebyemizannyo mu Buganda, Owek. Robert Serwanga, yazitongozza ng’ali wamu ne Ssekiboobo, Owek. Vincent Matovu.
Empaka zino zatongolezeddwa mu Ssaza Kyaggwe ku kisaawe kya Bishops SS, n’omupiira wakati wa Mut. IV Kawuga ne Mumyuka Nakifuma.
Empaka z’Omupiira gw’Eggombolola zitandise olwaleero, era omupiira ogugguddewo mu butongole gwabadde mu 'Ssekiboobo Cup' e Kyaggwe.
Ggombolola Mut. IV Kawuga ewangudde Mumyuka Nakifuma ggoolo 1:0, eteebeddwa Hassan Ssentongo.
Empaka zaakuyindira mu Masaza gonna 18.
