Oweek. Haji Sulaiman Magala, Katambala, ali Cape Town, mu South Africa, gye yagenda ku lunaku lwa Ssande, okuggulawo n’okuggalawo empaka z’omupiira gw’ebika by’Abaganda mu kitundu ekyo.
Yayaniriziddwa Omwami wa Kabaka ow’e Western Cape, Oweek. Denis Lugoloobi, awamu n’abakungu ku lukiiko lwe okwabadde Farida Mirembe; ogw’eggombolola Tina Mirembe; Dr. Ddamulira William; n’Akulira Ggwangamujje, e South Africa, Christopher Kasolo Jesus.
Baamukoledde akabaga, okumwaniriza n’okumwebaza olw’okukkiriza okubaawo ku mukolo gwabwe.
Empaka zaazannyiddwa olunaku lwa ggyo, ku kisaawe ekya Vasco Da Gama, nga zeetabiddwamu ebika byonna. Ogw’abaami, Emmamba Gabunga ye yawangudde, oluvannyuma lw’okusimuligana peneti n’Ente ku ggoolo 4 ku 3. So nga ogw’abawala gwawanguddwa Ekkobe, bwe lyakubye Omusu ggoolo 23, ku 18.