
Katikkiro atongozza Empaka za Masaza Cup 2025 awamu ne basiponsa abatongole b’Airtel
Katikkiro Charles Peter Mayiga atongozza Empaka z’Omupiira gw’Amasaza 2025.
Asabye buli muntu eyeetaba mu mpaka zino okukulembeza ekitiibwa ky’omuzannyo, obwesimbu, empisa ennungi, n’okukomya okulowooleza mu ddogo.
Akikaatiriza nti ebyemizannyo si kunyumirwa bunyumirwa, wabula mulimu abantu mwe bafuna ssente, ettutumu n’okutumbula ebitone era z'ensonga lwaki Obwakabaka busoosoowaza nnyo ebyemizannyo.

Oweek. Robert Serwanga, Minisita w’Abavubuka n’Ebyemizannyo, ng’ayogerako ku mukolo
Empaka z’Omupiira gw’Amasaza ez'okwaka guno za mulundi ogwa 21 bukya zitandika mu 2004.
Omupiira oguggalawo empaka zino gwakuzannyibwa ku Lwamukaaga luno ku Kitovu Sports Arena, nga Buddu ezannya Gomba.