Oweek. Serwanga Robert nga ayogerako eri banamawulire
Minisita w'Ebyemizannyo mu Buganda Owek. robert serwanga asisinkanye abakulembeze ba ttiimu z'Amasaza ennya (4) azaatuuse ku luzannya oluddirira olw'akamalirizo.
Bano abayozaayozezza olw'okutuuka ku mutendera guno n'okuba nti boolesezza omutindo oguyambye okusukkuluma ku balala.
Abasabye okusigala nga beetekateeka bulungi ng'agamba nti ttiimu enaasinga okweteekateeka obulungi y'ejja okusitukira mu kikopo ky'omwaka guno.
"Empaka zituuse wezinyumira ennyo, ku mutendera oguddirira ogusembayo, ate nga entikkko y'Empaka zino eriwo nga 2 Museenene, 2024" Owek. Serwanga.
Kuno ayongeddeko nti bonna abaatuuse ku 'Semi Finals' bonna baakulabwako ku lunaku oluggalawo empaka, nga abamu banaaba balwanira ekikopo ng'abalala bawakanira kifo kyakusatu.