
Oweek. Nakate Kikomeko akwasa abawanguzi ekikopo
Amasomero okuli Kawempe Muslim SS, Buddo SS, St. Noa Primary School, Katale Progressive Primary, Wampeewo Ntake SS, ne Mbogo High School, wamu n’amalala, gawangudde ebikopo mu mizannyo egy’enjawulo.
Ku lwa Katikkiro, Oweek. Choltilda Nakate Kikomeko, Minisita w’Obulamu, Enkulaakulana y'Abantu ne Woofiisi ya Nnaabagereka, yaggaddewo empaka zino n’asiima abakoze okutwala omuzannyo mu maaso.

Oweek. Serwanga ne Oweek. Nakate Kikomeko bali n’abawanguzi
Yayongeddeko nti ekigendererwa ky'empaka zino kwe kuggumiza ebitone by'abaana.
“Ssaabasajja Kabaka bwe yajaguza emyaka 30 ku Nnamulondo, yatulagira okussa essira ku kukuza ebitone by'abavubuka. Obwakabaka bwatadde amaanyi mu nsonga eno kubanga ebitone biyamba mu kuzimba obumu, okunyweza omukwano, okukulaakulanya obulamu obulungi n’okukolera awamu.
Bino byonna byetaagisa nnyo mu kuzimba Eggwanga,” bwe yategeezezza Minisita Nakate.