
Katikkiro wakati nga ali na batesitesi b'omupiira gwe bikka
Katikkiro Oweek Charles Peter Mayiga yeyakulembedemu omukolo gw’okugulawo omupiira gwe ebikka mu kisaawe ewankulukuku.
Mu gugguddewo, Bazzukulu ba Gunju ab'Obutiko bakubye bazzukulu ba Gabunga ab'e Mmamba goolo 3-2.
Abazannyi, Kagende Edrin, Namuwanda Steven, ne Wandyaka Richard, be bateebedde Obutiko ate goolo z'e Mmamba zombi ziteebeddwa Kisaakye John Wesley mu kakodyo kokusimula peneti.
