Oweek Robert Sserwanga Ssaalongo nga ayogera eli banamawurile
Empaka z'Amasaza ez'akamalirizo za nga 28 omwezi guno.
Bino byogeddwa Minisita w'Abavubuka, Emizannyo n'Ebitone, Oweek Robert Sserwanga Ssaalongo mu lukungaana lwa bannamawulire lwatuuzizza ku Bulange.
Empaka za kuzannyibwa mu kisaawe e Wankulukuku nga Bulemeezi ettunka ne Gomba, ate Mawokota balwanire eky'okusatu ne Buddu.
Abaze bawangula empaka zzino bebano wamanga
- 2022 – Busiro
- 2021 – Buddu
- 2020 – Gomba
- 2019 – Bulemeezi
- 2018 – Singo
- 2017 – Gomba
- 2016 – Buddu
- 2015 – Singo
- 2014 – Gomba
- 2013 – Mawokota
- 2012 – Bulemeezi
- 2011 – Buluri
- 2010 – Not Held
- 2009 – Gomba
- 2008 – Kyadondo
- 2007 – Mawokota
- 2006 – Kooki
- 2005 – Mawokota
- 2004 – Gomba