
Abawanguzi b’empaka za Nnalulungi w’Ebyobulambuzi mu Buganda 2025 e Mengo
Empaka za Nnalulungi w’Ebyobulambuzi mu Buganda 2025 zitongozeddwa olwa leero ku mukolo ogwategekeddwa ku Buganda Royal Institute e Mengo.
Abawala abali wakati w’emyaka 18 ne 25 be baaniriziddwa okwetaba mu mpaka zino era bagenda kuvuganya okuva mu Masaza 18. Abanaawangula mu Masaza bagenda kutuuka ku luzannya olw’enkomeredde awagenda okulondebwa omuwanguzi wa Buganda yonna.
Omulamwa gw’omwaka guno gwe, "Nze buwangwa bwange."

Emmotoka empya (kapyata) y’omuwanguzi wa Nnalulungi w’ebyobulambuzi 2025.
Bw’abadde atongoza empaka zino, Minisita w’Ebyobulambuzi mu Buganda, Owek. Anthony Wamala, agambye nti zitegekeddwa okutumbula eby’obulambuzi bya Buganda.
Agambye nti okuyita mu bavubuka, Buganda eyagala okwongera okumanyisa eby’obuwangwa n’ebyafaayo byayo eri abavubuka n’emirembe egiriddako.
Omuwanguzi w’omwaka guno ajja kufuna emmotoka nga kapyata.
#MissTourismBugandaKingdom2025