Emmotoka nga eri ku Poliisi E Nakuwadde
Emmotoka y'omwami wa Kabaka ow'essaza Busujju, Kasujju Mark Jjingo Byekwaso Kaberenge II eyabbiddwa mu kiro ekikeesezza leero, ezuuliddwa mu ggalagi emu e Nakuwadde-Bulenga.
Esangiddwa ng'etimbuddwako number plate y'emabega, n'okusiimuulako obulambe bwayo.
Bino bya baddewo oluvanyuma lw’abazigu abalumbye oweek Kasujju Nab’omumakage nebabatuusako obulabe saako nokubabako ebintu byabwe eby’omuwenda omwabadde amasimu, sente eziryeyo mubukadde nga busatu nga n’emmotokkaye ey’obwakasujju mweyagendedde .
Ababbi banno bamulumbye eyo mukiro nga yenabomu nju ye beebasse era babalese muntiisa yamanyi.