Omulangira Jjunju ng'agulawo emizannyo gya Golf e Kitante, ku kkono ye Oweek. Mugumbule
Emizannyo gya Golf mu kujjukira Amatikkira ag'omulundi ogwa 31 gyakomekkerezeddwa ku Kitante Golf Club.
Abawanguzi ku mitendera egy'enjawulo baakwasiddwa ebirabo era nga Lillian Koowe ye muwanguzi eyakize bonna mu bakyala ate Arthur Gwaku mu basajja.
Omulangira Chrispin Jjunju ne Oweek. Patrick Luwaga Mugumbule, Omukubiriza w'Olukiiko lwa Buganda, babaddewo ku kisaawe kya golf mu mpaka ezaategekeddwa mu kujaguza Amatikkira ga Kabaka Mutebi II ag'omulundi ogwa 31.
Omulangira naye yetabye mu kuzannya golf ku kisaawe e kitante.
Omulangira Jjunju nga tannatandika okuzannya
Oweek. Choltilda Nakate ku lw'Obwakabaka ye yaggaddewo emizannyo era yeebaziza bonna abaeetabyemu ne yeebaza na bonna abeegattira mu bibiina bya Golf olw'okuwagiranga enteekateeka z'Obwakabaka buli kiseera.