donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Emisinde gy’Amazaalibwa ga Kabaka 2025 gitongozeddwa

Emisinde gy’Amazaalibwa ga Kabaka 2025 gitongozeddwa
Katikkiro Mayiga ng’atongoza emijoozi gy’Emisinde gy’Amazaalibwa ga Kabaka 2025 ku Bulange

Katikkiro Mayiga ng’atongoza emijoozi gy’Emisinde gy’Amazaalibwa ga Kabaka 2025 ku Bulange

Emisinde gy'Amazaalibwa ga Kabaka omwaka guno gitongozeddwa, nga guno gwe mulundi ogw’ekkumi n’ebiri (12) okuva lwe gyatandika mu 2014. Omwaka guno, emisinde gisigadde ku mulamwa gwa kulwanyisa Mukenenya era gitegekeddwa okubeerawo nga 6 Apuli 2025.

Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga, y’atongozza emisinde gino ku mukolo ogubadde ku Bulange, ng’akyazizzaako bannamukago ab’enjawulo abawagira enteekateeka eno. Mu bubaka bwe, Katikkiro yasabye Gavumenti okusoosowaza okulwanyisa Mukenenya, ng’anokoddeyo nti obulwadde buno bweyogere ku misinde munene mu Uganda.

“Bwetuba nti mu bantu abali mu nsi yonna buli bana abalina Mukenenya bali mu Uganda, ekyo kyabulabe. Gavumenti esaanidde okwongera amaanyi mu kulwanyisa obulwadde buno,” Owek. Mayiga bwe yagambye.

Abakungu ab’enjawulo nabo babaddewo

Abakungu ab’enjawulo nabo babaddewo

Katikkiro era yakubirizza abasajja okusigala nga basaale mu kulwanyisa Mukenenya, kyokka n’abakyala nabo abatalina bulwadde, yabakuutidde okwekuuma n’okwekebeza bulijjo.

Yakubirizza amasomero, bannaddiini, n’ebitongole by’obwannakyewa okugula emijoozi nga bukyali, kuba gisigaddeyo mitwalo ebiri (20,000/=) gyokka.

Omukungu wa UNAIDS, Dr. Sarah Nakku, yayanjudde ennamba eziraga nti ku buli bantu 100 abalina Mukenenya mu nsi yonna, 4 ku bo Bannayuganda. Ono yalaze okutya ku ngeri America gy’eremye okweyongera okuwa Uganda obuyambi mu kulwanyisa obulwadde buno, ekintu ekiyinza okuleeta obuzibu obw’amaanyi.

Image 2 27-FEB-2025_large.jpg

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK