Katikkiro nga atongoza emijoozi nga aliwamunolukiiko olutesitesi
Katikkiro wa Buganda Charles Peter atongozza akakiiko akagenda okutegeka emisinde gy’Okujjukira amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ag’emyaka 69, wamu n’Akakiiko akagenda okutekega amazaalibwa g’Empologoma, n’Omulanga eri abantu ba Kabaka okukozesa amakubo gonna agayitwaamu okweewala Mukenenya nnamutta.
Emisinde gy’Okujjukira amazaalibwa ga Beene gyakubaawo nga 7 April, 2024 mu Lubiri lwa Beene e Mengo n’Okwetoloola amasaza gonna mu Buganda , ebweeru waayo n’ebweeru wa Uganda.
Beene asiimye n'omulundi guno emisinde giddukibwe wansi w’Omulamwa gwokulwanyisa mukenenya.
Emisinde gyakuddukibwa ku mulamwa ogugamba nti Abasajja babe basaale mu kulwaanyisa Mukenenya, nga bataasa omwana Omuwala.
Okujjulira amazaalibwa g’Empologoma kubeewo nga 13.4.2024 mu Lubiri e Mengo.
Bwabadde atongoza enteekateeka eno, Katikkiro azzeemu okukubiriza abasajja okutwala obuvunaanyizibwa eri abaana abawala, obutabayingiza mu bikolwa bya bukaba.
Asabye abantu okubeera abeegendereza bekuume mukenenya basobole okutuukiriza okwolesebwa kwobwakabaka okwokuzza Buganda ku ntikko, naye okutuuka ku kino abantu balina okuba abalamu.
Omujoozi gugulwa shs 20,000.