Kubugenyi bwaliko ewa Emir Alhajj Aminu Ado Bayero owe Kano, Omumyuka Asooka owa Katikkiro, Oweek. Prof. Twaha Kigongo Kaawaase, ng'ali wamu n'Oweek. Mariam Nkalubo Mayanja beetabye ku kijjulo ki "Royal Durbar Dinner" ekyagabudwa Emir okukuza emikolo gyona egya Kano Durbar 2023.
Ekijjulo kino kyabaddewo ku Ssande nga 2 July 2023, nga kyetabidwako n'Omumyuka wa Gavana w'e Kano; Sultan we Agadez, mu Nigeria; b'Ambasada n'abakulembeze abalala.
Emir yeebazizza abagenyi be bonna, olw'okukkiriza okujaguza nabo emikolo gya Kano Durbar omwaka guno.
Agambye nti enteekateeka eno egenda kubayamba nnyo okutumbula ebyobulambuzi, obusuubuzi awamu n'ebyobuwangwa.
Asuubiza okolagana n'abakulembeze ab'enono ku lukalu lwa Africa okulaba nga bafuna olukiiko olubagatta mwe basobola okuttanyiza ensonga z"obuwangwa, enono, enkulakulana y'abantu wamu n'ebyobulamu.
Mu bubaka bwe, Oweek. Kaawaase asiimye nyo Emir olw'ekijjulo ate n'okusosowaza Ssaabasaja Kabaka, awamu n'Obwakabaka bwa Buganda, ku mikolo gyo mwaka guno egya Kano Durbar.
Alambise ebyaafayo ebigata abantu ba Emir n'aba Buganda, n'asaba ekologana eno enywezebwe.
Omumyuka wa Gavana aggumizza ensonga ya banabyabufuzi okukwatira awamu n'abakulembeze eb'enono ku nsonga ezikwata ku muntu owa bulijjo.