
Olukiiko olutesitesi nga luwa lipooti.
Ssaabasajja Kabaka aweerezza obubaka eri abantu be ababeera e Bungereza, n’abeebaza emirimu gye bakola.
Okulamusa kwa Kabaka n’okwebaza eri abantu be ababeera e Bungereza ne Ireland bituusiddwa Omumyuka Asooka Katikkiro Owek. Prof Twaha Kaawaase Kigongo eyetabye ku kyeggulo kya Buganda mu Bungereza 2025.
Abantu ba Buganda ababeera e Bungereza emyaka egiwerako, bategeka ekyeggulo kwe bakuŋŋaanira okwongera okumanyagana, okunyweza obumu n’okuwuliziganyako ku nsonga ez’enjawulo, kino kizze kitegekebwa mu kibuga London kyokka ku mulundi guno kitegekeddwa mu kibuga Manchester.
Owek. Kaawaase abeeno abatuusizzaako n’okulamusa kwa Katikkiro Mayiga, ate n’abeebaza okumwaniriza obulungi, wamu n’emirimu gye bakola egiruubirira okusitula embeera zaabwe, okuzimba Buganda ne Uganda eyawamu. Abasiimye olw’okujjumbira enteekateeka eno, n’ategeeza nti ogwo gwe mwoyo gwa Buganda ogutafa.
“Tewali agenda kutuzimbira Buganda okuggyako ffe ffenyini kubanga ffe bannanyini mufu, ffe tukwata awawunya, kale mbeebaza okujjumbiranga enteekateeka z’Obwakabaka ez’enjawulo ate nga ntegezeddwa nti n’okuwaayo oluwalo mukikolera ddala, mwebale” Owek. Kaawaase.
Prof. Kaawaase agamba nti Buganda eweza emyaka 900, era abadde ne ba Kabaka 36 ebbanga eryo lyonna abagifudde Ensi amata obuta nga yeegombesa n’etuuka n’okuyitibwa eddulu lya Africa. Kyokka nti okusoomoozebwa kwa 1966 okw’okulumbibwa kw’Olubiri n’okuggyawo Obukulembeze obw’ennono mu Uganda kyazza Buganda emabega kyokka eky’essanyu mu 1993, Kabaka Mutebi II n’azza eŋŋoma ya Buganda.

Abagenyi nga balya eky’eggulo ku Mukolo gwa Buganda UK 2025.
Wano wasinzidde okusaba abantu ba Buganda buli omu okukolera mu busobozi bwe okuwagira emirimu gya Gavumenti ya Kabaka okusobola okuzimba Buganda okugizza mu kifo kyayo gye yamanyirwa okuva edda.Ku mulwmwa gw’ekyeggulo kino ogubadde; “Okwekulaakulanya ku mawanga nga tuyita mu kubeera obumu” Prof. Kaawaase agusiimye nnyo ng’agambya nti gusimbye mu nnamutayiika wa Buganda atunuuliziddwa ekiruubirirwa ekikulu; Okuzza Buganda ku Ntikko.
Ategeezezza nti Buganda erina ssente mu nsawo, abantu baayo nga bavudde mu bwavu, endwadde nga zirwanyisibwa, abantu nga bafuna ebyenjigiriza ebiri ku mulembe ate nga si bya buseere, bino by’ebimu ku biruubirirwa era Kabaka Mutebi II abitaddeko amaanyi okulaba nga embeera z’abantu be zisitulwa. Bwatyo agamba nti obumu obulimu okwebungulula Nnamulondo bwe bujja okunyweza Kabaka by’ataddeko amaanyi.
Prof. Kaawaase asoomozezza abagenda e Bungereza okunonya Ssente ate ne badda mu kwefunako ensaalwa n’obuteeyagaliza, bano abakuutidde okubeera obumu nga kye kinaabayamba okwekulaakulanya. “Bw’ofuna pawundi 10 nga oli omu kizibu kyakuzizaazaamu, kyokka bwe mwegatta abantu nga 1000 musobola okubaako bye mutuukako, tukolere wamu, tusobole okutuuka ku lyengedde”.

Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo ng’ayogerako eri abantu ba Kabaka.
Prof. Kaawaase akubirizza abakulembeze bano okubeera abeerufu, okugatta obwongo n’obumanyirivu kibayambe okuyiiya okumanya ewatuufu ew’okuteeka ensimbi. Abakubirizza okusiga ensimbi gye bali ku mawanga n’ewaka gye basibuka. Kyokka okusiga ewaka abasabye okwesiga abantu abatuufu baleme kunyagibwako nsimbi zaabwe nga bwekitera okulabika nga waliwo abalidde ssente za ‘Bankubakyeyo’.
Ye Ssaalongo Geoffrey Kibuuka Omwami w’Essaza Bungereza ne Ireland yebazizza Omumyuka wa Katikkiro olw’okubeera ku kyeggulo kino 2025, yebazizza ne Bannayuganda abalala aba; Bunyoro Kitara, Lango ne Acholi, Abatooro, Abagisu n’abalala abeetabye ku mukolo guno.
Owek. Kibuuka yebazizza abantu ba Beene abaweereza Obwakabaka kyokka nga bali Bulaaya, agamba bano bakola omulimu gwa nsusso era abeebazizza olw’okuteekayo omwoyo eri ebibakwatako obuteerevu ng’akikaatiriza nti Buganda y’ensibuko yaabwe.
Mu ngeri y’emu yebazizza abantu abeeggasse mu tereka mu nsawo gye baatandikawo mwe bateeka ensimbi ezibayambako mu biseera ebizibu nga okufiirwa. Ategeezeza nti webatuukidde ku kyeggulo nga balina bammemba abasoba mu 1000 era akunze abantu abalala okubeegattako.

Abakungu nga besanyusamu, abakulembeddwamu Owek. Kaawaase Kigongo
Owek. Kibuuka asinzidde wano n’akoowoola abantu ba Buganda abalina obuyigirize n’obukugu obw’enjawulo okuvaayo beeggatte ku buweereza bw’Obwakabaka awatali kugamba nti oli mukulembeze oba si mukulembeze.
Ku mukolo guno wabaddewo n’okukwasa ebirabo eri abo abeetaba mu mpaka z’olulimi Oluganda mu Ssaza lino.