
Omukungu Edward Kagwa Ndagala ng’asomesa abantu bakabaka ku by’obulimi ne by’obulunzi
Ekitongole kya Kabaka Foundation kisomesezza abalimi n’abalunzi mu Ggombolola Ssaabagabo Nsangi ne Ssaabawaali Kasanje ku nnima ey’omulembe, nga kigendereddwaamu okukyuusa endowooza z’abantu ku by’obulimi.
Omusomo guno gugendereddwamu okuyigiriza abantu nti obulimi si kibonerezo wadde kyekwaso, wabula kisobola okubaggya mu bwavu. Ekitongole kya Kabaka Foundation kyategezezza nti kyayungudde Heifer International okuyamba mu kutumbula ennima ey’omulembe n’okwongera ku mutindo gw’ebirime n’ebyobulimi.
Abalimi baakungaanidde ku mbuga ya Ggombolola Ssaabawaali Kasanje, gye banyumyemu ku ngeri gye bayinza okutumbula obulimi bwabwe okulaba nga buvaamu omuganyulo.
Minisita asabye abalimi okwagala omulimu gwabwe
Minisita w’Obulimi, Obulunzi, Obuvubi n’Obwegassi mu Buganda, Oweek. Hajji Amisi Kakomo, yabadde omusomesa omukulu era yasabye abantu okwejjamu endowooza egamba nti obulimi bw’abaalemwa.
"Abantu bangi, omuli n’abayivu mu biti eby’enjawulo, baagaggawala okuyita mu bulimi. Tusaanidde okubalabirako, tusooke tuteeke ssente mu bulimi, tusomese abaana baffe, era tukozese obulimi okutumbula obulamu bwaffe,” Oweek. Kakomo bw’agambye.
Yayongeddeko n’okusaba abalimi okuyingira obwegassi okubayamba okufuna eby’okukola ebigasa omuli ‘Dreem Project’ n’enteekateeka endala.
Kabaka Foundation esuubiza okuyamba abalimi
Ssenkulu w’Ekitongole kya Kabaka Foundation, Edward Kaggwa Ndagala, ategeezezza nti Beene kati afubidde nnyo ku by’obulimi n’obulunzi nga ayita mu mukago ne Heifer International.
Ekitongole kino kigenda kussaawo ebifo eby’enjawulo eby’okusomeseza abalimi mu buli ggombolola mu Buganda, era ogwasooka gugenda kuba e Bukalango.
Mu nteekateeka eno, abalimi abasinze abalala bajja kufuna empeera omuli:
- Ente ezivaamu amata agatakka wansi wa liita 50 buli lunaku.
- Abalunda enkoko bajja kufuna amasannyalaze g’amaanyi g’enjuba (solar) okubayamba okukkakkanya ensimbi ze babadde basasula.

Abantu nga bagoberera omusomo nga bayiiga obusomesa ku nnima ey’omulembe n’oku luuda
Oweek. Kaggwa Ndagala agambye nti ekizibu ekisinga okusanga be bantu abalemeddemu omwoyo gw’okwekolera ne beerabira omugaso gw’obulimi. Yabasabye okuyiga n’okukozesa obuyambi obuliwo.
Abakulembeze balabudde abantu okwenyigira mu bulimi
Omumyuka owookubiri owa Ssebwana, Vincent Kayongo, asabye abantu okukwasizaako mu nteekateeka ya Kabaka ey’okuggya abantu mu bwavu okuyita mu kulima. Agambye nti balina okulima mu ngeri y’omulembe era n’abalina ettaka ettono basobola okuliganyulwamu.
Omwami we Ggombolola Ssaabawaali, Andrew Benon Kibuuka, yeebazizza Kabaka Foundation olw’emmwanyi ze baabagabira mu 2023 ezitandise okulisa, n’asaba okwongerwako endala.
Abamu ku bantu abaganyuddwa mu bulimi n’obulunzi baawadde obujulizi ku ngeri gye bafunye omuganyulo mu mulimu guno.
Ekitongole kya Kabaka Foundation kyeyamye nti kaweefube w’okusomesa abalimi n’abalunzi wakwongera okusitula amasaza gonna mu Buganda.