
Emmanuel Muhummuza nanyini kampuni ya Buganda kumbucha nga akwassa Oweek Nakate kikomeko kaadi y'emotoka
Kampuni ya Buganda Kombucha etonedde ekitongole kya Kabaka Foundation ambulance eyambeko mu kutaasa obulamu bwa bannayuganda naddala mu byalo.
Omutandisi wa Kampuni eno Emmanuel Muhummuza, mu butongole akwasizza Minisita avunaanyizibwa ku by'obulamu Oweek Cotilda Nakate Kikomeko Ambulance eno ku Bulange.
Bwabadde akwasibwa Ambulance eno, Minisita w'eby'obulamu n'enkulaakulana y'Abantu, Oweek Cotilda Nakate Kikomeko, ategeezezza nti obwetaavu bungi mu by'obulamu, omuli eddagala, abasawo, ambulance, kubanga abantu betaaga obujjanjabi obumatiza basobole okuwona endwadde.

Oweek Nakate nga alin'abakungu okuva mu Kabaka Foundation
Abategeezezza nti Ssaabasajja Kabaka ayagala omuwendo gwabasawo gweyongere, era waliwo enteekateeka okukubiriza abazadde okuyingiza abaana mu misomo gyebyobulamu bafune obukugu obwokujjanjaba abantu nga basinziira mu malwaliro g'Obwakabaka agali mu kuzimbibwa naago agaazimbibwa edda.
Ssenkulu wa Kabaka Foundation, Omuk. Edward Kaggwa Ndagala, agambye nti
Motoka eno yakubayamba okutuuka ku bantu wansi yonna gyebali basobole okutaasa obulamu bw'abantu.
Alaze kaweefube wokugaba omusaayi mu Masaza ga Buganda watuuse n'engeri gyayambyeko okutaasa obulamu bwa bannayuganda era nga waliwo obwetaavu obwokufuna ebikozesebwa eby'enjawulo nga ne Ambulance mwogitadde.