Nnabagereka ng'atongoza Ekisaakaate
Nnaabagereka Sylvia Nagginda Luswata atongozza Ekisaakaate kya Nnaabagereka 2025 wansi w'omulamwa, "Okukwanaganya obuwangwa bwaffe ne tekinologiya".
Ekisaakaate ky'omulundi ogw'e 18 kya kuyindira ku Ssomero lya St. Janan mu Gatonnya wa 2025 era naasaba abazadde n’amasomero okuteeka essira ku nnimi ennansi kibayambe okwongera okutegeera ensonga.
Nga atongoza ekisaakaate kino ku Bulange e Mmengo, Nnaabagereka Sylvia Nagginda alaze obutali bu mativu olw’abasomesa okukulembeza oluzungu mu baana nebatafaayo ku bakubiriza kwogera nnimi zaabwe ate nga oluzungu lwandibadde nnyongereza nga bwekiri mu mawanga g'ebweru.
Abayizi nga basanyusa abagenyi ba Nnabagereka
Akinogaanyizza nti ekisaakaate 2025 kyakuyamba nnyo mu kuzimba abaana abato okusingira ddala mu buntubulamu ssaako nokusaasaanya ebikwata ku Nnono zaffe n’obuwangwa ku muyungagano gwa yintanenti n’emikutu emirala okusobola okubimanyisa abalala.
Ye Minisita w’Ekikula ky’Abantu nensonga za woofiisi ya Nnaabagereka, Oweek Choltilda Nakate Kikomeko, annyonnyodde nti enteekateeka y’ekisaakaate ya nkizo nnyo mu lutabaalo lw’okuzza Buganda ku ntikko ng'esimbira ddala mu nsonga ssemasonga ettaano, omuli okukuuma n’okutaasa Nnamulondo.
Oluvannyuma Nnaabagereka akwasizza omukulu w'essomero lya Janan Micheal Kironde bendera y’ekisaakaate ng'akabonero akalaga obuvunaanyizibwa obumukwasiddwa.