Oweek Katikkiro nga yogerako eri abazzadde nabasakaate
Ekisaakaate kya Nnaabagereka 2024 e‘ky'omulundi gwe 17 ekimaze wiiki 2 kiggaddwawo Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ku ssomero lya Hormisdallen primary school e Gayaza.
Katikkiro Charles Peter Mayiga yabadde omugenyi omukulu. Nnaabagereka Sylivia Nagginda, Nnaalinnya Lubuga Agnes Nabaloga, Ssenkulu wa Uganda Revenue Authority John Musinguzi, be bamu ku bagenyi abenjawulo abeetabye ku mukolo guno.
Abayizi ku mitendera gyonna boolesezza byebayize n'abasukkulumye baweereddwa ebirabo ebibasiima.
Bwabadde aggalawo ekisaakaate ky'omulundi ogwe 17, Katikkiro Charles Peter Mayiga, asabye abazadde bafune akaseera akatonotono okubangula omwana mwebyo ebinaamuyisa mu nsi eno. Agamba nti Omwana bweyenyigira mu Kisaakaate afuna emiganyulo okugeza, ayiga empisa z'omubantu, okukola emikwano, okukolagana n'abantu, ayiga okumanya ekituufu ekisaanidde okukolebwa mu kiseera ekyo, ayiga nti okuwummulako nakyo kikulu, era bino bye bijjayo ennyingo z'empisa z'obuntubulamu omuli, okuyiga obuvunaanyizibwa, okubeera abeerufu, ebeesimbu, emiganyulo gy'obukulembeze, okuba abayonjo, abenkanya, abwulize, omuntu yenna akola ebyo talemererwa nsi.
Akinogaanyizza nti abazadde basaanye okussa ekimu ku nsonga y'empisa nokuzissa mu baana nga bakyali bato.
Mu ngeri yeemu asabye abazadde okufissa akadde mu nteekateeka zaabwe ez'emirimu okwekkaanya ebyo abaana byebayize mu Kisaakaate nga babissa mu nkola. "Abaana tebasobola kuvaamu okujjako ffe abazadde nga tubakubirizza okussa mu nkola empisa z'obuntubulamu".
Yebaziza Nnaabagereka olwenteekateeka yekisaakaate ekiyambye okugunjula abaana.
Omuyizi Newton Kasasa, eyasinze mu bayizi bonna, Katikkiro amukwasizza ekirabo ky'eggaali eyawebwayo Nnaalinnya Lubuga Agnes Nabaloga.
Omuyizi Newton Kasasa nga bamuwa ekirabo ky'eggaali
Bannamikago ab'enjawulo okuli, Uganda Revenue Authority, National Drug Authority, Finance Trust bank, babangudde abayizi muby'enfuna, n'enkulaakulana kibayambe okwongera okumanya obuvunaanyizibwa bwabwe nga bannansi b'eggwanga Uganda.
Ekisaakaate kimaze ssabbiiti bbiri wansi w’Omulamwa "Okulafuubanira obuntubulamu".
Omutandisi w’Essomero lya Hormsdallen primary school Kizito Mukalazi, asabye ekisakaate 2025 nakyo kimuweebwe akikyaaze, mungeri eyenjawulo neyeebaza Nnaabagereka olw’Okwolesebwa omulamwa oguwa essuubi.