donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Ekisaakaate Ggwanga Mujje Boston 2024 kiggaddwawo

Ekisaakaate Ggwanga Mujje Boston 2024 kiggaddwawo
Image

Abasakaate nga bafuna eky'emisana

Omubaka wa Ssaabasajja Kabaka mu Ssaza New England mu America Oweek. Henry Ndawula aggaddewo Ekisaakaate ky'Abaana abato ekitegekebwa Ekibiina kya Ggwanga Mujje Boston mu Ssaza New England buli mwaka.

Ekisakaaate ekimanyiddwa nga Ggwanga Mujje Summer Camp kyategekeddwa ku mulamwa “Tugunjule emiti emito” omubadde okusomesa abaana obuwangwa n'ennono za Buganda omuli olulimi Oluganda, okufumba, ennyambala, amazina Amaganda n'ebirala.

Okwolesa emisono gya gomesi

Okwolesa emisono gya gomesi

Bwabadde aggalawo Ekisaakaate kino, omubaka Henry Ndawula, yeebazizza Ssenkulu wa Ggwanga Mujje Boston Mukyaala Rebecca Nansasi, n'Omumyuka we Muky. Rhona Nakalyowa awamu n’Akakiiko akakulembera ekibiina kino olw'okufaayo ennyo okusomesa abaana abali ku mawanga obuwangwa n'ennono zaabwe kuba emiti emito gye giggumiza ekibira.

Abasabye okwongera okussa ettoffaali mu kuzimba n’okuzza Buganda ku ntikko.

Omukolo gwetabiddwako, Omumyuka w'Omubaka Omuk. Fiona Kafeero, bannaddiini, Fr. Vicent Kafuuma, Rev. Alex Kasirye, Rev. Canon Ssemanda, Pastor May Kawaala, Omulangira Nicholas Basamuleekkere, Abalangira n'amAbambejja awamu n'abazadde ba baana bano.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK