Owek. Choltilda Nakate Kikomeko yatuuse era nayanirizza abasaakaate
Abasaakaate abasoba mu 600 basimbuddwa enkya ya leero okuva e Bulange - Mmengo okwolekera Janan School e Bombo, Bulemeezi, awagenda okubeera embuga y'Ekisaakaate omwaka guno okuva nga 4 okutuuka nga 18 Gatonnya. Omulamwa gw’omwaka guno gwe “Okukwanaganya Obuwangwa ne Tekinologiya.”
Minisita avunaanyizibwa ku Woofiisi ya Nnaabagereka, Owek. Choltilda Nakate Kikomeko, yasoose okwaniriza abasaakaate ku mbuga enkulu e Mmengo.
Mu bubaka bwe, Yeebazizza abazadde olw’okujjumbira enteekateeka eno era n’ategeeza nti abaana bagenda kuyiga ebintu ebyenjawulo omuli:
- Obuntubulamu n’okukola obulungi ne bannaabwe,
- Obuwangwa n’ennono za Buganda, wamu ne
- Tekinologiya ng’ekitundu ekikulu mu nsi ekyukakyuka.
Abazadde baleese abaana mu bungi okweteeka mu kisaakaate ky'omwaka guno
Ssenkulu wa Nnaabagereka Development Foundation, Omuk. Adrian Mukiibi, alambuludde omulamwa gw’omwaka guno, ng’agamba nti tekinologiya ne buwangwa biteekwa okukwatagana okulwanyisa eky’okuzikirizibwa kw’obuwangwa obw’edda.
Agambye nti ensi ensangi zino yeetanidde nnyo tekinologiya, ekireetaawo okwebuuza butya obuwangwa bwebusobola okukuumibwa mu nsi ekyukakyuka.
Omuk. Mukiibi agasseeko nti abaana bagenda kufuna obusobozi okutegeera obulungi tekinologiya ne bwebasobola okumukwanaganya n’obuwangwa bwabwe, bongere okubutegeera n’okubagazisa abalala.
Ye Ssaabagunjuzi w’ekisaakaate, Owek. Rashid Lukwago, ayogedde nti omulamwa gw’omwaka guno gugendererwa okuyamba abaana okwezuula obusobozi bwabwe mu tekinologiya n’okukozesa obuwangwa okutumbula obulamu bwabwe.
Abasaakaate abasoba mu 600 basimbuddwa enkya ya leero okwolekera ku Janan School e Bombo mu kutambula kw’Ekisaakaate omwaka guno
Ku ssomero lya Janan School, wategekeddwa emisomo egy'enjawulo nga gyaakutambulizibwa abagunjuzi abawerera ddala 100.
Maama Nnaabagereka asuubirwa okulambula abaana bano naye abeeko emisomo gy’abawa, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga naye bwatyo, wamu n’abagenyi abalala bagenda kutuukayo okusomesa abaana n’okubajjukiza omuwendo gw’obuwangwa n’obuntubulamu mu nsi ya Buganda.
Ekisaakaate ky’omwaka guno kigenda kumala ennaku kumi na nya (14) okuva nga 4 okutuuka nga 18 Gatonnya, nga kino kyetabwamu abaana wakati w’emyaka 6-18, abawala n’abalenzi abagenda okubangulwa mu bintu eby’enjawulo by’omuntu n’obuvunaanyizibwa.