Eddwaaliro lya Muteesa II Health Center e Nsangi
Katikkiro ategeezeza nti amalwaliro g'Obwakabaka gagenda kutuusa ku bantu b'Omutanda obujjanjabi obw'omutindo ate nga busoboka mu bisale eri buli muntu nga Nnyinimu bwe yasiima kikolebwe.
Yeebazizza bannamukago bonna abakolaganye n'Obwakabaka mu kutuukiriza omulimu guno amakula.
Obubaka buno Katikkiro abutisse Oweek. Israel Kazibwe Kitooke, Minisita w'Amawulire n'Okukunga era Omwogezi w'Obwakabaka amukiikiridde mu kutongoza eddwaaliro lino.