Minisita w'Obuwangwa; Embiri; Amasiro Obulambuzi, n'Ebyokwerinda, Oweek. Anthony Wamala, asisinkanye Col. James Kato Kalyebara, Omuduumizi w'ekibinja kya UPDF ekivunaanyizibwa ku kukuuma abakulembeze ab'ennono. Ensisinkano ebadde mu Bulange, e Mmengo, era boogedde ku nsonga ez'enjawulo ez'ebyokwerinda.