Enteekateeka ez'enjawulo naddala mu byemizannyo, Nnyinimu yasiima zitambulizibwe ku miramwa gya byabulamu okugeza; Emisinde gy'amazaalibwa ge, empaka z'Amasaza, ez'Ebika, ez'Eggombolola n'endala, byonna byetoolerera ku bya bulamu n'addala okulwanyisa okusaasaana kwa Mukenenya.
Tekyewunyisa lwaki Kabaka Mutebi II yalondebwa ng'emunyeenye mu kulwanyisa mukenenya mu Africa.
Obwakabaka buzimba amalwaliro mu Masaza ag'enjawulo, butegeka ensiisira z'Ebyobulamu, okukubiriza abantu okukola dduyiro n'okulya obulungi era ekisaanidde nga mu bino byonna bigendererwamu okulaba ng'omutindo gw'embeera z'abantu gusituka.