
Okusaba n’okujaguza emyaka 32 nga Kabaka Mutebi atudde ku Nnamulondo.
Ku Lwokuna luno, nga 31 July, tujja kubeera e Kibuli mu kusaba, okujjukira n’okujaguza emyaka 32 nga Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II atudde ku Nnamulondo.
Abakristu e Kasakka, mu disitulikiti y’e Gomba, nabo beegasse ku masinzizo agakoze okusaba okw’enjawulo okwebaza Katonda olw’emyaka 32 Kabaka gy’amezze nga atudde ku Nnamulondo.
Minisita w’obulimi, obusubuzi, obwegassi n’obuvubi mu Bwakabaka bwa Buganda, Owek. Hajj Amisi Kakomo, yasomye obubaka bwa Katikkiro mu mmisa eno.