
Omukulu w’essomero ly’Obwakabaka ayanjula ebyava mu bigezo eri Oweek. Choltlida Nakate Kikomeko
Abakulira amasomero g’Obwakabaka aga siniya banjulidde Minisita w’Enkulaakulana y’Abantu n’Ebyenjigiriza, Oweek Choltlida Nakate Kikomeko, ebyava mu bigezo bya siniya ey’omukaaga 2024 abayizi baabwe bye bakola.
Enteekateeka eno eyindidde mu Bulange e Mmengo ku Mmande.
Ebya Lubiri High School ettabi ly’e Mmengo byanjuddwa omumyuka w’omukulu w’essomero, Namata Rita. Mu bigezo bino, amasomero g’Obwakabaka gatuuza abayizi 123, era 4 ku bo baasobola okufuna obubonero 19, ate abalala bonna baafuna obubonero obubasobozesa okugenda ku matendekero aga waggulu.
Bbo aba ettabi lye Buloba, ebyabwe byanjuddwa omukulu w’essomero, Mw. Ssebina Charles, era nabo baayisa bulungi abayizi baabwe, nga bonna baafuna obubonero obubatwala ku matendekero aga waggulu. Omuyizi Namutebi Bridget yafuna obubonero 18.
Bbowa Vocational Senior Secondary School e Luwero, okuyita mu mukulu wayo Lubowa James, nayo yayisa bulungi abayizi baayo. Omuyizi eyasinga yafuna obubonero 15, wadde nga baatuuza abayizi batono ddala.

Oweek. Choltlida Nakate Kikomeko mu lukuŋŋaana n’abakulu b’amasomero g’Obwakabaka
Mu kwogerako eri ba Ssenkulu bano, Minisita w’Enkulaakulana y’Abantu era avunaanyizibwa ku by’Enjigiriza, Oweek Choltlida Nakate Kikomeko, abasabye okwongera ku mutindo gw’amasomero gano nga batuukana n’ebyo ebigobererwa mu nsomesa eriwo, naddala eyebisomesebwa ebipya.
Yasabye okwongera okuteekateeka n’okulwanyisa ebiziyiza abaana abawala, okulaba nga bayingira essomero era ne bamaliriza bulungi okusobola okutangaaza ebiseera byabwe eby’omumaaso.
Minisita Nakate era akubirizza abakulu b’amasomero gano okufuba okulungamya abaana ku masomo ge bakola mu siniya ey’omukaaga, nga tebasinziira ku bye basinze okuyita wabula ku ebyo bye balinamu obusobozi n’obwagazi.
Ku nsonga yemu, minisita asabye abasomesa okulaga abazadde obukulu bw’abaana okulambula ebifo bye basomako, naddala amakolero, eby’obulambuzi, n’ebirala.
Minisita yebaziza nnyo amasomero g’Obwakabaka olw’obutaba na misango gyekuusa ku nkwata y’ebibuuzo mbi, era byonna nebiteebwa wamu n’abasomesa abalafuubana okusomesa abaana, ne basobola okuyita.