Katikkiro na bamyukabe wamu ne senkulu wa Airtel uganda.
Ebibiina bya Sacco eza CBS okuli, Kyaddondo CBS Pewosa Sacco, ne Buddu CBS Pewosa Sacco ziguze emigabo mu kampuni ya Airtel gya kawumbi kamu n'obukadde kkumi.
Katikkiro Agamba nti ebibiina bya Sacco eza CBS byatandikibwawo kulungamya bawuliriza ba radio, nga tubagamba nti okusobola okukyuusa obulamu bwo kitandikira kuggwe nga wefaako, weefubako nga olina kyokola, okubaako botambula nabo, okumanya awali obutale bwebyo byokola, era bino byebiruubirirwa bya CBS Pewosa Sacco ez’enjawulo.
Asabye abantu obutatya kusiga, lino limu ku makubo mwoteeka ssente nezizaala amagoba, era bongere okwetegereza ekkubo lino eryokusiga bajja ku lifunamu nnyo.
Wonna awamu Obwakabaka bwakasiga akawumbi kamu nobukadde bibiri mu kkumi. 1.21bn mu nteekateeka ya Airtel ey'okugula emigabo eya Initial Public Offer (IPO).