
Olukiiko oluteesiteesi luli mu maaso g’ekizimbe Maasomoogi ku St. Peter’s Bombo Kalule
Ebbugumu liri waggulu mu nteekateeka z’okujaguza amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ag’emyaka 70, nga mikolo emikulu gisimbye ennyiriri mu kweetegekera ebikujjuko.
Olukiiko oluteesiteesi lulambudde essomero lya St. Peter's Bombo Kalule, awali ekizimbe Maasomoogi kye yasiimye kibbulwemu erinnya lye, Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II. Ekizimbe kino kigenda kutongozebwa ku 4/04/2025.
Owek. Choltida Nakate Kikomeko, Mumyuka wa Ssentebe w’Olukiiko luno, yakulembeddemu okulambula essomero lino era n’ategeeza nti enteekateeka eno egendereddwamu okuggyayo ekitiibwa kya Nnyinimu, naddala ku lw’ekkula lye ery’emyaka 70.

Essomero lya St. Peter’s Bombo Kalule, ekimu ku bifo ebikulu mu kukuza amazaalibwa ga Kabaka Mutebi II
Kangaawo Omulangira Ronald Mulondo, omutandisi w’essomero lino, yeyanzizza Beene olw’okusiima ekizimbe kino kimujjukirwemu. Ategeezezza nti bali mu keetalo okulaba ng’ekyafaayo kino kibeera mu kitiibwa ekisaanidde.
Asabye Bannabulemeezi okujjumbira enteekateeka zonna ez’Amazaalibwa ga Ccuucu, naddala emisinde egigenda okubaawo ku 6/04/2025.
Kabaka Birthday Run egenda kubeerawo nga 6/04/2025 wansi w’omulamwa "Tudduka tulwanyise siriimu, twekuume, tugatte obumu, era tujaguze emyaka 70 gya Ssaabasajja." Abantu bakuuziddwa okwetaba mu misinde gino mu Lubiri e Mengo.