donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Ebbago ly’okunyweza enkozesa y’ettaka n’ebizimbe mu Bwakabaka

Ebbago ly’okunyweza enkozesa y’ettaka n’ebizimbe mu Bwakabaka
Owek. Robert Waggwa Nsibirwa ng’ayogerera eri abatekateka ebbago lino.

Owek. Robert Waggwa Nsibirwa ng’ayogerera eri abatekateka ebbago lino.

Ebbago erinaruŋŋamya nkozesa y’ettaka n’ebizimbe mu Bwakabaka, likubaganyiziddwako ebirowoozo mu lusirika olumaze ennaku biri ku kitebe ky’ebyobulambuzi mu Buganda e Mmengo, nga lwategekeddwa Buganda Land Board ne minisitule y’ettaka n’Ebizimbe mu Bwakabaka, nga bagenderera okwongera okulakulaanya Obwakabaka.

Omumyuka Owokubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda, Rorbert Waggwa Nsibirwa, asabye abaluubirira okubaga ebbago lino obuteerabira buwangwa na nnono, nga bitwalibwa nga ensonga so si mukisa:

“Ekifundikwa kyaffe y’ennono n’obuwangwa, naye abamu bakikozesa okukotogera n’okuziŋŋamya emirimu okugenda mu maaso. Naye twandirowoozeza ku ngeri gye tuyinza okutaasa obuwangwa, kyokka ne tugenda mu maaso era kisaanidde okulaba ennono ng’omukisa okuvaamu ensimbi,” Oweek Nsibirwa bwategezezza.

Minisita w’ettaka n’ebizimbe, David FK Mpanga, asuubiza nti ebbago lino bakwongera okulirongoosa, era mu myezi esatu lijja kuba lituuse mu Kabineeti. Kyokka abajjukiza nti byonna ebituukiddwako ebirowoozo bisaanidde okukolebwa mu mbeera eziriwo, okwewala emiziziko mu kugisa mu nkola.

Ssenkulu wa kkampuni ya Knight Frank Uganda Limited, Muky. Judy Rugasira Kyanda, asabye buli eyenyigidde mu lukuŋŋaana luno okunyiikira okukolera emirimu gyabwe mu nkola endigito, okusobola okwekuumira ku mutindo oguliwo ensangi zino, kuba lwe banaasobola okwanguya emirimu gyabwe.

Olukuŋŋaana luno lwetabiddwamu abantu abenjawulo, okuli Ssaabawolereza Christopher Bwanika, Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba, Omutaka Namugera Kakeeto, abakungu abenjawulo, n’abakiise abalala.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK