Abagenyi okuva Uganda Alcoholic Policy Alliance nga bali neba minister ba kabaka nga bakulembeddwamu Oweekitiibwa Noah Kiyimba
Ebbago kumwenge, bannakyewa basisinkanye obwakabaka ku nkozesa yaagwo
Bannakyewa aba Uganda Alcoholic Policy Alliance abatakabanira okubunyisa obwetaavu bwe bbago elya Uganda Alcoholic control, bakyadde embuga olwaleero okumanyisa obwakabaka obwetaavu bw'ebbago lino ssaako nokumanya endowooza y'obwakabaka ku nsonga eno.
Bano nga bakulembeddwamu ssentebe waabwe Juliet Namukasa bagamba nti batalaaze ebitundu by'eggwanga ebyenjawulo okubunyisa engiri eno nebakizuula nti yadde omwenge mukulu nnyo mu mikolo egy'obuwangwa n'ennono, tewaliiwo bukulembeze bwagala bantu baabwo kukeera kugangayira kubanga kino kizingamya enkulaakulana.
Obwakabaka nga bukulembedwamu Oweekitiibwa Noah Kiyimba Minisita wa kabineenti
Bano era bagamba nti ebbago lino ligendereddwamu okutaasa abaana abato okutandika okwekatankira omwenge ekiteeka obulamu bwabwe mu matigga ssaako n'okutta ebiseera byabwe eby'omumaaso.
Oweekitiibwa Noah Kiyimba Minisita wa kabineenti, Olukiiko, n'ensonga za woofiisi ya katikkiro, nga yakiikiridde kamalabyonna mu nsisinkano eno, agamba nti yadde omwenge kitundu ku buwangwa n'ennono naddala ku mikolo nga okwanjula, okwabya ennyimbe n'emirala, waliwo abantu abagukozesa obubi.
" obubenje bungi obugwawo nga bwekuusa ku bagoba okuba ngabatamidde nebatasobola kusalawo mangu oba ekituufu".
Minisita era agamba nti abantu ba Kabaka bangi bakola emirimu egyekuusa ku mwenge ng'okusogola, okutunda, n'okulima ebikozesebwa mu kuyiisa omwenge nga balina okwetegereza ebbago lino bwelirambika abali mu mulimu guno.
"Tugenda kwekeneenya engassi ewebwa anasangibwa nga amenye etteeka lino n'ensonga endala ezikwata ku bbago lino"
Minisita Kiyimba wabula akinogaanyiza nti yadde ebizibu bingi ebiri mu kunywa omwenge, mulimu ebirungi bingi singa omuntu anywa ogw'ekigero.
ensisinkano eno era yetabiddwamu oweek Kazibwe Israel Kitooke Minisita w’Amawulire, okukunga era omwogezi w'obwakabaka, Ssaabawolereza w'obwakabaka oweekitiibwa Christopher Bwanika n'abakungu abalala okuva mu bwakabaka.