
Mu maaso nga wofiisi empya e Ssaza Kooki bwewafaanana
Abantu ba Kabaka abawangaalira mu Ssaza Kooki bafunye ekifo ekipya webanaasinziira okuddukanya emirimu gya Kabaka, ekiraga okweyongera okw’omutindo mu nkulaakulana y’Obwakabaka mu kitundu kino.
Ekifo kino, ekisangibwa e Lumbugu, kiweereddwayo Omubaka mu Lukiiko lwa Buganda era Omumyuka Owookubiri ow’Omukwanaganya w’e Ssaza Kooki, Oweek. Mw. George William Kasumba Ddumba.
Kigendereddwamu okuweereza nga ekifo eky’okusookerwako okutuusa nga Gavumenti ya Wakati eddizza Obwakabaka ebintu byayo, omuli n’Embuga y’e Ssaza Kooki.
Omukwanaganya w’e Ssaza Kooki, Muky. Gertrude Ssebuggwawo, agambye nti ab’e Kooki bakozesa enkola ey’okukola ebikolwa mu kifo ky’ebigambo. Ategeezezza nti engeri gye bagonjoola ebizibu ebyenjawulo yabayambye okufuna ekifo kino.
Bw’abadde aggulawo yafeesi eno, Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu n’Ensonga za Buganda ebweru, Oweek. Joseph Kawuki, agambye nti abantu abanyiikivu mu nkulaakulana y’Obwakabaka balaga omwoyo ogw’ekitiibwa.
Ategeezezza nti enteekateeka ng’ezino zeyongera okukuumira Buganda ku mulamwa gw’okwekuuma n’okweggumiza.

Owek. Joseph Kawuki ng’aggulawo wofiisi empya
Ategeezezza nti Nnyinimu nga yakadda, waliwo basajjabe abaamuwa yafeesi atuulemu, naye kati ali mu mbiri ze alamula Buganda. Bw’atyo, ensonga ng’ezino zijjayo enjogera y’omwoyo gwa Buganda ogutafa.
Abasabye baleme kukyamuukirira olw’abo aboogera ebingi kyokka nga tebalina muwendo gwebongerako ku mugendo, era abo babatwale nga "missed call" batazikwata.
Ono akulisizza ab’e Kooki olw’ensonga enkulu gye batuuseeko, era yeebazizza Oweek. Mw. George William Kasumba ne mukyala we olw’omutima omugabi gwe baayolesezza ne bawaayo Amakula eri Beene ag’ekakkalabizo.
Asabye Abaami ba Kabaka okweyambisa woofiisi zino okutumbula emirimu gyabwe, batuuse obuweereza eri abantu ba Kabaka. Era abasabye okuziwangamu ekitiibwa nga bazikuuma nga kyonjo, nga bwe kigwanira Buganda.