Busiro ewangudde Buddu ku ggoolo 2:1, mu mupiira oguzannyiddwa e Wankulukuku.
Busiro ewangudde ekikopo kino omulundi ogusooka, so nga Buddu ebadde enoonya kuwangula mulundi gwakusatu, omuli n'okutuuka ku luzannya olw'akamalirizo emirundi 3 egy'omuddiringanwa.
Katikkiro, ategeezezza nti Beene asangiddwa bweru wa ggwanga, gye yagenda nga 22 Mukutulansanja, 2023.
Yeebazizza Minisita, Ssekabembe n'olukiiko oluteesiteesi, olw'enteekateeka ennungi, n'asaba abantu okwongera okuziwagira kuba zezisinga okutumbula ekitone ky'omupiira mu bavubuka.
Busiro eweereddwa ne cceeke y'ensimbi ya bukadde 12, so nga Buddu efunye ensimbi obukadde 9.