Katikkiro nga alambula emu kunimiro zemwanyi mu saza ly'e buwekula
Katikkiro ayolekedde e Ssaza Buweekula gyagenze okulambula abalimi b'Emmwanyi n'okukubiriza abaayo okwenyigira mu kaweefube wa mmwanyi terimba n'okwettanira obwegassi.
Awerekeddwako Minisita w'Obulimi, obutale n'obweggasi Oweek Hajji Amisi Kakomo, Minisita w'Amawulire Okukunga era Omwogezi w'Obwakabaka, Oweek Israel Kazibwe Kitooke, Minisita wa Kabineeti Olukiiko n'ensonga za Woofiisi ya Katikkiro, Oweek Noah Kiyimba, ne Ssentebe wa Bboodi wa BUCADEF Dr. Benon Muyinza Ssekamatte.
Kamalabyonna wa kulambula abalimi mu Ggombolola Ssaabagabo Kasambya, Mutuba I Kitenga, ne Kasaana
Oweek Amis Kakomo ne katikkiro nga balambula abalimi
Kamalabyonna atongozza omwaka A ogwa 2024, ogwa Mmwanyi terimba.
Akubirizza abantu okunyweza emiramwa gya kaweefube wa mmwanyi terimba, okuli, obwegassi, okunywa kaawa nokwongera omutindo ku mmwanyi, nokugoba obwavu.
Kaweefube ono amutongolezza Buweekula mu Ggombolola ya Mutuba 1 Kitenga.