donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Buganda yettanira nnyo okukuuma n’okuyigiriza olulimi Oluganda

Buganda yettanira nnyo okukuuma n’okuyigiriza olulimi Oluganda
Owek. Patrick Luwaga Mugumbule nga atuusa obubaka bw’akatikkiro

Owek. Patrick Luwaga Mugumbule nga atuusa obubaka bw’akatikkiro

Obwakabaka bwa Buganda bwettanira nnyo okuyigiriza, okumanyisa awamu n’okukuuma olulimi Oluganda.

Ebigambo Katikkiro Charles Peter Mayiga abitadde mu bubaka bw’atisse Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda mu kutongoza amawulire ag’Oluganda ku Family Television, agaatumiddwa Amafeffette.

Katikkiro yebazizza obukulembeze bw’Ekkanisa ya Uganda olw’okutumbula olulimi Oluganda, era asabye amawulire gano agateereddwawo ku mukutu gw’amawulire guno ogw’Ekkanisa ya Uganda gazimbirwe ku bwerufu, amazima n’obwenkanya.

Ye Owek. Mugumbule, ku lulwe, yebazizza Ssaabalabirizi n’Abakulisitaayo bonna olw’okumalirira ne basasula ebanja ly’ekizimbe kya Janan Luwum Church House, webasangibwa ne ttivi y’Ekkanisa era ewabadde n’omukolo guno.

The Most Rev. Steven Kazimba Mugalu nga awa obubaka bwe

The Most Rev. Steven Kazimba Mugalu nga awa obubaka bwe

Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda, The Most Rev. Steven Kazimba Mugalu, asinzidde wano n’asaba abali mu bitongole by’amawulire okwewala amawulire agamalamu abantu essuubi, wabula bakuŋŋanye amawulire ago agazzaamu essuubi.

Abasabye okwewala okukuba emitwe gy’amawulire egitiisa nga “Bamusse,” “Bamutemyeko Omutwe” n’ebirala eby’obulabe, nti bino bireeta emmeeme z’abantu okwennyika, ne babeera mu kutya ne baggwamu n’essuubi.

Amawulire ag’Oluganda gakubelako buli lunaku nga ssaawa kumi n’abiri ez’olweggulo.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK