Katikkiro nga ali ku kisawe ky’ennyonyi Entebbe nga natera okusitula okugenda e zimbabwe
Katikkiro ayolekedde eggwanga lya Zimbabwe okwetaba mu lukungaana lwensi yonna olutegekeddwa eb'ekibiina ky'amawanga amagatte abalwanyisa mukenenya ki UNAIDS.
Ng'asimbula, Katikkiro agambye nti okuva Kabaka lweyafuulibwa emunyeenye mu kulwanyisa mukenenya, akoowodde abasajja okwekebeza, n'okubeera abasaale mu kulwanyisa mukenenya, abuuliride abaana okulinda okwetaba mu byekikulu, era kino kireeseewo enjawulo nnene ddala mu kwetangira akawuka kano.
Alaze nti mu biseera nga tetunnayingira mu muggalo gwa covid19 abantu abakwatibwa mukenenya baakendeera nnyo, naye mu biseera bya covid19 olwebbulwa ly'ebikolwa abaakwatibwa beeyongera, naye kati kaweefube ono yaddamu era ebibalo biraga nti eddobboozi lya Kabaka mu kulwanyisa mukenenya liwulirwa.
Ekibatwala e Zimbabwe kwe kubuulira abakulembeze abalala naddala mu Africa, nti singa beeyambisa abakulembeze ab'ensikirano ku mitendera egy'enjawulo kiyinza okukola ekinene mu kulwanyisa mukenenya.
Kamalabyonna awerekeddwako Minisita w'Abavubuka Emizannyo n'Ebitone, Oweek Robert Sserwanga Saalongo, Omuwandiisi w'Enkalakkalira mu Woofiisi ya Katikkiro Omuk. Josephine Nantege, n'abakungu abalala.