donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Obwakabaka bwa Buganda buyozaayozezza Omukama wa Bunyoro olw'okutuuka mu Matikkira ge ag'omulundi ogwa 30

Obwakabaka bwa Buganda buyozaayozezza Omukama wa Bunyoro olw'okutuuka mu Matikkira ge ag'omulundi ogwa 30
Image

Omuhikirwa Andrew Byakutaaga ne Oweek Patrick Luwaga Mugumbule spiika w’olukiiko lwa Buganda (Wakati)

Obwakabaka bwa Buganda buyozaayozezza Omukama Rukirabasaija Agutamba Solomon Gafabusa Iguru olw’okutuuka ku matikkira ge ag’emyaka 30 nga alamula abantu be.

Obubaka obuyozaayoza Omukama, Katikkiro Charles Peter Mayiga abutisse Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Oweek Patrick Luwaga Mugumbule, ayozaayozezza Omukama Gafabusa, olw'okutuuka ku lunaku luno, n'olw'okutakabanira okukuuma ennono n’obuwangwa, okufaayo ku nkulaakulana y'Abantu, wamu n'okuleetawo obumu mu bantu be Bunyoro.

Ssaabaminisita wa Uganda Robinah Nabbanja ne Andrew Byakutaaga, Omuhikirwa wa Bwakabaka bwa Bunyoro Kitara mu Ekikaali Karuziika mu kibuga Hoima

Ssaabaminisita wa Uganda Robinah Nabbanja ne Andrew Byakutaaga, Omuhikirwa wa Bwakabaka bwa Bunyoro Kitara mu Ekikaali Karuziika mu kibuga Hoima

Agamba nti okwolesebwa kuno, kuyambye kinene nnyo Obukama bwa Bunyoro okugenda mu maaso nebufuuka eky'okulabirako.

Obwakabaka bwa Buganda n'Obukama bwa Bunyoro bulina bingi bye bufaanaganya, noolwekyo nsonga nkulu nnyo okunyweza eby'obuwangwa bino okusobola okumalawo ebibasomooza. Bwagasseko.

Kamalabyonna yebazizza Omugo Margaret Karunga Adyeri, olwokulabirira obulungi Omukama Dr. Solomon Gafabusa Iguru 1 omugonvugonvu.

Obubaka bwa Pulezidenti busomeddwa Ssaabaminisita, Robina Nabbanja.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK