Katikkiro ng'akwasa ab'Eggombolola pikipiki
Abaami ab'Eggombolola abaali baffise okufuna pikipiki nabo bafunye.
Katikkiro akwasiza Abaami ab'Eggombolola abaali baffise okufuna pikipiki era abakubirizza okuzeeyambisa obulungi okwongera okutuusa obuweereza ku bantu ba Kabaka.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu bubakabwe, ategeezezza nti abaami bonna abaweereddwa pikipiki beebo 80 abaali baafikkira ku mulundi ogwasooka.
Abaami ba Ssabasajja Kabaka ab’abasoba mu 200 okutwalira awamu bebaakafuna pikipiki.
Aabafunye pikipiki basuubizza nti baakukola obutaweera okutuusa obuweereza eri abantu ba Beene, baganyulwe mu ntekateeka z’Obwakabaka ez’Enkulaakulana.
Pikipiki nga bwe zifanana mu bimuli bya Bulange
Katikkiro agamba nti Obwakabaka obwanga bubutunuuliza ensonga enkulu 3; ebyobulamu, ebyenfuna n'ebyenjigiriza.
Bwatyo n'asabye Abaami ab'Eggombolola okutuusa obuweereza ku muntu wa bulijjo asookerwako ng'agamba nti omulimu ogusinga obunene ogw'okuzza Buganda ku ntikko guli mu kukyusa embeera zaabwe.
Ensimbi ezivujjiridde omulimu guno zaava mu misinde gy'amazaalibwa ga Kabaka era Owoomumbuga akalaatidde abaweereddwa pikipiki okwongera okujjukiza abantu akabi akali mu bulwadde buno ( HIV/AIDS), bongere okwekebeza n'okwekuuma.