
Wano Omugenzi Raila Odinga yali akyalidde Ssabasajja Kabaka mu Lubiri e Mengo
Amawulire g'okufa kwa Raila Odinga tugafunye ne nnaku nnyingi"
Katikkiro Charles Peter Mayiga ng'ayita ku mikutu gye egy'omutimbagano, ategeezeza nti enju ya Odinga erina enkolagana ey'enjawulo n'Olulyo Olulangira mu Buganda, ebaddewo okuviira ddala mu mirembe gya Ssekabaka Edward Muteesa II n'okutuusa kati.

Wano Ssabasajja Kabaka yali amukyaliddeko e Kenya.
Amwogeddeko ng'omuntu atadde ettofaali eddene mu byobufuzi bya Kenya n'enkulaakulana mu by'amateeka ate era ng'abadde omusuubuzi ow'amaanyi.
Katikkiro akubagizza Abooluganda n'emikwano, Bannakenya n'abantu b'obuvanjuba bwa Africa bonna olw'okufa kwa Raila Odinga, era asabye Katonda omwoyo gwe agwanirize na kisa.
Mu bifaananyi wansi, gy'egimu ku mirundi Raila Odinga gy'asisinkanye Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II.