Minisita wamawulire mu bwakabaka nga asomera banamawurire ekiwandiiko ekyafulumizidwa
Ekiwandiiko ky'Obwakabaka ku kukwatibwa kwa Musana Ibrahim.
Ibrahim Musana ow’emyaka 27, addukanya emikutu gya yintaneeti egya Pressure Pressure yakwatiddwa ku Lwomukaaga ku bigambibwa nti, mu birala, okutyoboola , okutumbula ebigambo ebiraga obukyayi n’okukuma omuliro mu bantu okukola effujjo era ali mu kaduukulu ka poliisi ku bigambibwa nti yavuma Kabaka, kabaka w’Obwakabaka bwa Buganda, n’abakungu b’obwakabaka abalala mu vidiyo ze.
Obwakabaka bwa Buganda bulabuddde abantu abakozesa emikutu emitimbagano okuvvoola Okubuvvoola n’okutyoboola Ssabasajja Kabaka okukikomya bunnambiro.
Obwakabaka butegeezza nti waliwo abagufudde omugano nga bayita ku kumitimbagano okwonoona erinnya n’ekitiibwa kya Kabaka, Katikkiro n’abakulembeze abalala mu bwakabaka nga basiga obukyayi n’okusosola mu mawanga, nga balina ekigendererwa eky’okunafuya n’okukyaya Buganda.
Minisita w'Amawulire Okukunga era Omwogezi w'Obwakabaka, Oweek Israel Kazibwe Kitooke asinzidde mu lukungaana lwa bannamawulire n'ategeeza nga Obwakabaka bwe bwenyigiddemu obutereevu mu kukwatibwa kw'omuvvoozi ono.
Oweek. Kazibwe Kitooke nga ayogerako eri banamawulire
Minister Owek. Israel Kazibwe Kitooke asinzidde ku mbuga enkulu mu Bulange e Mengo mu kwogerako eri bannamawulire, nalabula bonna ebereega mu bwakabaka nti balye kamanye ng’akoza nowebbwa , nti kubanga Obwakabaka sibwakusirika naddala ku batyoboola Nnamulondo.
Mu mbeera yeemu Isreal Kazibwe Kitooke ategeezza nti oluvanyuma lwobwakaba okwekubira enduulu eri ekitongole ekinonyereeza ku buzzi bwemisango mu ggwanga ki CID, abeby’okwerinda baanoonyereezza era nebakwata omuvubuka Musana Ibrahim eyeyita Pressure abadde yefudde mmo mu kutyoboola obwakabaka.
Owek. Isreal Kazibwe asabye abantu mu Buganda obutaterebuka olw’abantu abasaasanya obulimba ku Buganda ,wabula basigale bumu ku kukuuma n’okutaassa Nnamulondo saako okukulakulanya Buganda.
Ono ye Musana ekwatidwa noluvanyuma lw’okuvuma Kabaka
Mu ngeri yeemu omwogezi wa police Fred Enanga ategezezza nti bakakungaanya obutambi obusoba mu 50 obulumika omuvubuka Musana Ibrahim, avunaanibwa okukozesa obubi omutimbagano návvoola Ssaabasajja Kabaka.