Katikkiro Charles Peter Mayiga, eggulo ya leero assitudde okugenda mu America okwetaba mu kukungaana lwa Buganda Bumu North American Convention (BBNAC), olugenda okubeera e Seattle mu Washington State. Bwabadde asitula okuva e Ntebe basitudde n’Omulangira David Kintu Wasajja.
Katikkiro awerekeddwako Abataka abakulu b’Obusolya okuli Omutaka Muteesasira, Omutaka Mukalo, Omutaka Ggunju, Omutaka Nakigoye. Mu balala kuliko: Ababaka b’Olukiiko Oweek. Mutaasa Kafeero, n’Oweek. Daniel Ssempala.
Ekibinja kya Katikkiro era kirimu Bassenkulu b’Ebirongole awamu n’Abaweereza ab’enjawulo