donate

Choose Language

Luganda English

  
donate

Buddu ewangudde empaka z'Amasaza 2024, essanyu katono litte bannabuddu

Buddu ewangudde empaka z'Amasaza 2024, essanyu katono litte bannabuddu
Image

Buddu nga ewanika ekikopo, essanyu katono litte bannabuddu

Buddu ye Nantameggwa w'Empaka z'Amasaza 2024 bwekubye Kyaggwe 1-0, gool eteebeddwa Walaga mu kitundu ekisooka.

Namboole awuuma! Baminisita ba Kabaka,ba Jjajja , Abataka, abakungu, n'abaami ba Kabaka ku mitendera egy'enjawulo baatuuse dda nga bajulizi b'omukwano ng'enkizo y’amasaza y'akatemagana wakati wa Buddu ne Kyaggwe.

Guno mulundi gwa kusatu nga Buddu esitukira mu kikopo kino.

Image

Kabaka nga awubiira ku bantu be

Ssaabasajja Kabaka atuuse e Namboole okulaba omupiira ogw'akamalirizo wakati wa Buddu ne Kyaggwe, ng'ayaniriziddwa Katikkiro, Minisita Ssaalongo Robert Sserwanga, Oweek Joseph Kawuki, Pookino, Kaggo, n'abakungu abawerako.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK