donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Buddu ewanduse mu Mpaka z’Amasaza 2025

Buddu ewanduse mu Mpaka z’Amasaza 2025
Omu ku bazannyi ba Buddu ng’alaga obutali bumativu oluvannyuma lw’okuwanduka mu mpaka.

Omu ku bazannyi ba Buddu ng’alaga obutali bumativu oluvannyuma lw’okuwanduka mu mpaka.

Buddu ewanduse mu Mpaka z’Amasaza; Kyaggwe, Buweekula ne Ssingo beeyongeddeyo

Empaka z’omupiira gw’Amasaza ga Buganda omuntu asobola okugamba nti zituuse we zinyumira anti omutendera gw’ebibinja guli mu kukomekkerezebwa, era amasaza ag’enjawulo gatandise okuvaamu ate amalala ne gayongerayo ku mutendera oguddako.

Essaza Buddu, abaawangula ekikopo omwaka oguwedde, liri limu ku Masaza agawanduse era agatasobodde kuva mu kibinja omwaka guno. Bano newankubadde baggulawo na buwanguzi nga bakuba Gomba ggoolo 1-0 mu mupiira ogwaggulawo, ebintu oluvannyuma byaboononekera; ku mipiira 9 egyazannibwa ku 10 egyali mu kibinja , bawanguddeko 2, amaliri ga mirundi 3 ate ne bakubwa 4 mu kibinja Bulange mwe bali.

Buddu okuva mu kibinja, kwongedde okunyweza ebyafaayo by’empaka zino, eky’okuba nti okuva lwe zaatandika mu 2004 tewali Ssaza lyali lyeddiza ekikopo kino nga liwangula emirundi ebiri egy’omuddiring’anwa. Buddu esigadde ku bikopo 3 bukya empaka zitandikawo emyaka 21 egiyise.

Amasaza agakyakoze enjawulo omwaka guno era agamaze okwesogga oluzannya lw’okusirisizaawo kuliko Kyaggwe, Ssingo (ekibinja Muganzirwazza) ne Buweekula (ekibinja Masengere), ate amasaza amalala agalindirira ebibalo by’omupiira ogusembayo kuliko Buluuli, Busujju, Ssese, Kkooki, Mawokota, Kabula, Bugerere ne Kyaddondo. Kyokka ttiimu 8 zokka ze zigenda ku mutendera oguddako okuli 2 eziyitawo obutereevu mu buli kibinja n’endala 2 ezisinze okukola obulungi mu kifo eky’okusatu mu bibinja ebisatu.

Amasaza agakakasiddwa nti gamaze okuwanduka mu mpaka z’omwaka guno kwe kuli Buvuma, Bulemeezi, Mawogola, Butambala, Gomba, Buddu ne Busiro.

Emizannyo egyabaddewo ssabbiiti eno, nga buli ttiimu yazannya omupiira ogw’omwenda, mwetwalabidde n’Amasaza agaabadde teganakubwamu nga gakubwa omulundi ogusoose omwaka guno. Essaza Kyaggwe babadde bazannye emipiira 8 nga tebakubiddwamu, kyokka Ssingo yabakubidde waabwe y’ennyini ku Bishops SS – Mukono ggoolo 2-0. Ate Bugerere nayo yafudde ku ngo eriko omwana, Mawokota bwe yabakubidde ggoolo 3-0 e Buwama.

Mu kiseera kino buli ssaza lisigazza omupiira gumu, era gyonna gyakuzanyibwa ku Lwomukaaga nga 06/09/2025 ku ssaawa mwenda ez’emisana.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK