
Owek. Katikkiro Charles Peter Mayiga (wakati) ayaniriza Omulabirizi Henry Katumba Tamale n’omukyala ku Bulange
Omulabirizi wa West Buganda, Bp. Henry Katumba Tamale, ne mukyala we Canon Elizabeth Julia Tamale, bakyalidde Katikkiro wa Buganda okuloopa olutabaalo lw’obuweereza bwe nga yeetegekera okuwummula ku bulabirizi bwe yatandikira mu 2016.
Bp. Tamale yebazizza Obwakabaka olw'okutambula naye mu buweereza bwe, n’agamba nti Ssaabasajja Kabaka atadde amaanyi mu kusitula omutindo gw’abantu mu byenjigiriza, eby’obulamu, eby’enfuna n’ebirala.

Omulabirizi Katumba atuusa okusiima kwe eri Katikkiro
Yebazizza ne Katikkiro Charles Peter Mayiga olw’okuweereza Kabaka obulungi era n’okunyweza obumu mu Buganda awatali kusosola.
Katikkiro yebazizza Bp. Katumba Tamale
Katikkiro Charles Peter Mayiga yebazizza Bp. Tamale olw’okubeera ekyokulabirako ekirungi mu buweereza bwe, n’awaayo obukulembeze awatali kusindiikirizibwa.
Agambye nti Bp. Tamale abadde n’obuweereza obulabika, era amwebazizza olw’obutakoma kulyowa myoyo kyokka naye n’okukubiriza abantu okukola okwekulaakulanya.
Katikkiro amusiimye n’olw’okulwanirira kaweefube wa #EmmwanyiTerimba.
Asabye Bp. Tamale ne mukyala we Canon Elizabeth Julia Tamale okusigala nga bagasa Buganda n’eggwanga mu buwummuzi bwabwe.
