Abagole nga Bali n’abagenyi baabwe okuli omumyuka wa Katikkiro asooka
Birimuye Micheal Matovu, omukozi ku BBS Terefayina - Eyaffe agatiddwa mu bufumbo obutukuvu ne Nabacwa Vivian mu ekkeleziya e Kitovu
Omumyuka Asooka owa Katikkiro Oweek. Prof. Twaha Kaawaase akubirizza abagole bano obutateeka bufumbo bwabwe ku mitimbagano wabula babunyweze basole okuzimba amaka amalungi kubanga amaka gwe musingi gwa Buganda eggumidde.
Asabye abavubuka okufumbirwa mu kiseera nga beeteeseteese bulungi, ate n'okumanya nti obufumbo kikolwa ekigatta eddiini n'obuwangwa era ababuyingira bateekwa nga bamaliridde, bwatyo abaagaliza obufumbo obulungi.