
📸 Ababaka ba Bboodi y’Ebyenjigiriza mu Bwakabaka nga bali mu lukiiko e Bulange
Bboodi y’ebyenjigiriza mu Bwakabaka esanyukidde ku mirimu egikolebwa Minisitule y’Ebyenjigiriza ekulemberwa Owek. Choltilda Nakate Kikomeko.
Okusiima kuno kwakuleeteddwa Ssentebe wa bboodi eno, Muky. Deborah Zawedde Ssetyabule, mu lukiiko olwatudde eggulo mu Bulange, n’asaba abakiise ku bboodi eno bulijjo okugoberera ebigenda mu maaso mu Minisitule y’Ebyenjigiriza mu Bwakabaka era n’okubiwanirira — okugeza enkola ya bbasale, n’entambuza y’emirimu mu masomero n’amatendekero g’Obwakabaka.
Mu nteekateeka empya eyaleetebwa minisita eno ey’okukungaanya bbasale ku mutimbagano, olukiiko lwategeezeddwa nti abayizi abasoba mu 1,300 be baakawebwa bbasale mu nkola eno, era kaweefube akyagenda mu maaso okumanyisa abazadde n’abayizi okwettanira enkola eno.
Olukiiko lwayisizza ebiteeso ebiwerako okwongera okunyweza n’okutumbula ebyenjigiriza olw’obukulu bwabyo eri eggwanga.
Minisita w’Ebyenjigiriza n’Enkulaakulana y’Abantu, Owek. Choltilda Nakate Kikomeko, naye yeetabye mu lukiiko luno.