donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Bboodi ya Weerinde Insurance Brokerage Services Limited ezze buggya

 Bboodi ya Weerinde Insurance Brokerage Services Limited  ezze buggya
Image

Katikkiro, Ministers, and New Board Members captured in a group photo

Okukyusa Bboodi ya Weerinde Insurance Brokerage Services Ltd
Abantu ba Kabaka mu Buganda n’ebweru waayo bajjukiziddwa okuteeka mu nkola n’okukuuma byebalina nga babiteekerateekera, omuli n’okubigguliwawo enkola za insuwa, nga singa bibeera bifunye obuzibu babeerako gyebaddukira.

Katikkiro abawadde amagezi nti okwerinda ssi buti, era naawa ekyokulabirako eky’obuweereza mu by’obulamu, eby’obulimi n’ebyenjigiriza, n’okukuuma eby’obugagga nga tebitatagaanyiziddwa.
Agambye nti ng’abantu ba Buganda beetegekera okusitula embeera zaabwe, basaanye bettanire obuweereza bwa Yinsuwa bakulaakulane.

Katikkiro okwogera bino abadde ku mukolo gw’okuzza obuggya Boodi ya ya kampuni y’obwakabaka eya Weerinde Insurance Brokerage services limited, ogubadde mu Bulange e Mengo.
Omuk. Evelyn Nabakka Kigozi asigadde ye Ssentebe wa boodi ya Weerinde Insurance Brokerage services limited, Omumyuuka ye Sam Ntulume,

Bboodi empya eyimiridde bweti.

  • Omuk. Ronnie Mutebi (Quality Assurance at KSK Associates)
  • Omuk. Canoni Alice Ddamulira (Director of St. Mark's College, Namagoma)
  • Omuk. Simon Ssekankya (Managing Director of Hardware World)
  • Omuk. Elijah Zizinga (Managing Director of Ssekanyolya Systems)
  • Omuk. Badru Ntege (Managing Director of NFT Consultants Ltd)

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK