Omuk. Benon Ntambi nga ali ne katikkiro wakati
Bboodi empya ey'ekitongole ky'eby'obulambuzi etongozeddwa
Bboodi eno ekulemberwa Omuk. Benon Ntambi atakyuusiddwa.
Abalala abali ku Bboodi.
- Ssuuna Luutu amyuka Sssentebe
- Kaweesi Daniel
- Omuk. John Kitenda
- Busuulwa Farouq
- Omulangira Edirisa Luwangula
- Kasozi Jimmy
- Nassaali Clair
- Namuyimbwa Allen
- Ssebuggwawo Marvin
- Justine Naluzze Ssembajjwe
- Omuk. Albert Kasozi
Bwabadde abatongoza, Kamalabyonna abasabye bakole ku nsonga zino wammanga.
1). Batereeze enzirukanya ya Buganda Heritage and Tourism Board ekitongole kiddukanyizibwe mu ngeri y'e kikugu.
2). Okukola enteekateeka enaasikiriza abalambuzi.
3). Bazimbe Ekkaddiyizo.
4). Batereeze wankaaki w'Olubiri.
Katikkiro nga ayogerako eri bamemba ba boodi
Katikkiro asabye abavunaanyizibwa ku kitongole ky’ebyoblambuzi mu Bwakabaka okukola obutaweera okulaba ng’ekitongole kino tekibeera bubeezi na linnya wabula kituukirize emirimu egigasa Obwakabaka n'abakozi baakyo.
Mukuumaddamula agamba Buganda ne Uganda zirina enkizo ku Nsi endala mu by’obulambuzi naddala eby’obutonde n’ebiteeketeeke era zisobola okubifunamu ensimbi nnyingi singa bisoosowazibwa.
Okwogera bino Katikkiro abadde atongoza Bboodi y'Obulambuzi n'Ennono ey'Obwakabaka ku Mbuga enkulu ey’Obwakabaka e Bulange Mengo.