Omutaka Namwama wakati mu kanzu nga alinebazukulube
Omukolo gw'okusonda gubadde ku mbuga y'e Ggombolola Mutuba IV Masekkati Kampala, era ensimbi obukadde obusoba 52 ze zetaagibwa okumaliriza omulimu gw'okuzimba.
Bwabadde ayogerako eri bazzukulu be, Omukulu w'Ekika ky'e Kkobe eta omukubiriza w’olukiiko lw'Abataka, Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba, abategeezezza nti essuubi lyokukulaakulanya Ekika balitadde mu bazzukulu n'ekigendererwa eky'okubanywereza mu mirimu gy'Ekika n'okubeera abasaale mu nkulaakulana zonna ez'Ekika.
Omwami wakabaka Henry Kawuma asooka ku dyo nebazukulu banne.
Omwami wa Kabaka atwala Ggombolola ya Mutuba IV Kampala Masekkati, Henry Kawuma Male, asabye bazzukulu ba Namwama banyiikire nnyo okusomesa abaana babanguke ate babayigirize obuuwangwa bwabwe.
Ensimbi ezisoba mu bukadde 26 zezikungaanyiziddwa olwa leero.