
Wano ng’emizannyo gigenda mu maaso
Bannauganda abakakkalabiza egy'abwe mu ggwanga lya Norway wansi w'ekibiina ekibagatta ki Buganda Society bategese emizannyo gy’ebika nga kaweefube w'okunyweza obwa sseruganda.
Empaka ziyindidde ku Frogner Park mu kibuga ekikulu Oslo era mu mizannyo egiwakaniddwa kuliko; omweso ,okudduka emisinde egy'akati, ,ekigwo ggumbya ekiganda, amazina amaganda, okuddukira mu kutiya, okwolesa eby'obuwangwa, okulaga ennyambala y'Abakyala n'Abaami mu Buganda, n'okusomesa abaana ebikwata ku Buganda.
Ku mukolo guno Ow'essaaza Scandinavia , Oweekitiibwa Nelson Mugenyi akiikiriddwa mwami Ssekitooleko Nelson era yatuusizza obubaka bwe obwebaza aba ‘Buganda society in Norway’ olw'okukumaakuma bannakibiina mu Norway, n'okubakuumira mu buwangwa ate n'okukolagana obulungi ne bannayuganda bonna

Wano nge emizannyo gyiwedde
Ye ssentebbe wa ‘Buganda society in Norway’ yeebaziza nnyo olukiiko olukulembeze olw'ekibiina olw'okutegeka omukolo ate n'okuweereza obuteebalira era n'akinogaanya nti Buganda society in Norway tesosola mu bantu olw'amawanga, eddiini oba endowooza zaabwe ez'eby'obufuzi.
Ssentebe era ayanjudde olukiiko lw'ekibiina era nga luliko; Muweesi Hannington,, Ntongo Jesca, Matovu Abu, Mugisha Moses, Irene Bisaso Hoem, Ssekadde Charles, Omulangira Seka Kimera, Nantaba Hanah, Omulangira Emmanuel Jjunju, ne Charlote Nakakaawa.
Ye akulira eby'okusomesa abaana olulimi oluganda mu kibiina kino, Irene Bisaso agabye ebirabo eri abaana era n'asaba abazadde bongere okuleeta abaana okusoma oluganda mu lusoma oluddako mu mwezi gw'omwenda 2025.