Bannamukago b’Obwakabaka aba Wells of Life, abasima enzizi mu bitundu bya Buganda eby’enjawulo, bakiise e mbuga. Basisinkanye Katikkiro okwongera okuttaanya enkolagana yaabwe n’Obwakabaka.
Katikkiro abasiimye olw’enkolagana eno etuusa amazzi amayonjo ku bantu ba Kabaka, n’asaba abantu okukuuma n’okulabirira enzizi ezaakasimwa, okulwanyisa endwadde eziva ku mazzi amakyafu n’ebbula lyago. Yeebazizza n’abantu ba Kabaka ababeera ebweru abaleese ensimbi okuwagira enteekateeka eno.
Oweek. Amis Kakomo, avunaanyizibwa ku nteekateeka eno agambye nti basimye enzizi ezisoba mu 700.
Aba Wells of Life, ababadde bakulembeddwa, Adrian Laurent, ne Charles Hedges, beeyamye okwongera okusima enzizi n’okukubiriza abantu ku buyonjo, nga kati obwanga ba bwolekezza Mawokota ne Gomba.