donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Bannamawokota babanguddwa ku bya'amateeka

Bannamawokota babanguddwa ku bya'amateeka
Owek. Christopher Bwanika (kudyo), Ssaabawolereza w’Obwakabaka, ye yakulembedde omusomo guno

Owek. Christopher Bwanika (kudyo), Ssaabawolereza w’Obwakabaka, ye yakulembedde omusomo guno

Abantu ba Ssaabasajja Kabaka abe Mawokota babanguddwa ku nsonga z'amateeka mu lusiisira olutegekeddwa Obwakabaka bwa Buganda nga buyita mu kitongole kyabwo eky’ebyamateeka, Buganda Royal Law Chambers, ku Mbuga y’Essaza e Butoolo.

Olusiisira luno lutambulidde ku mulamwa ogugamba nti: “Okubunyisa Enjiri y’Amateeka mu Bantu ba Ssaabasajja.”

Ssaabawolereza w’Obwakabaka, Owek. Christopher Bwanika, y’abadde omubanguzi omukulu. Alaze nti ensonga z’ettaka ze zisinga okuleetera abantu okubulwamu emirembe.

“Wadde nga nsonga z’ettaka zibasuza temwebase, mbasaba mwongere okuteeka essira ku ddembe lyammwe ery’obutuuze,” bwe yategeezezza.

Owek. Bwanika yasabye abantu okukozesa ekkakkalabizo eryatondeddwa Ssaabasajja Kabaka — erya Buganda Royal Law Chambers — nga baloopa emisango egy’enjawulo, naddala egiri mu bitundu gyebawangaalira, basobole okufuna obulamuzi okuva mu bakugu abassibwawo.

Yawadde essuubi nti Obwakabaka bugenda kweyongera okukwasaganya n’okugoberera ebizuuliddwa okuva mu bantu, ku nsonga eziteeka abantu mu buzibu, okukakasa nti bakkiririza mu mateeka agagoberera obulamu bwabwe.

Omwami w’Essaza Mawokota, Owek. Sarah Nannono Kaweesi, yategeezezza nti ensonga z’ettaka zisusse mu kitundu kino. Yagambye nti waliwo abantu abangi abafuna ebyapa ku ttaka omuli abo abasasula obusuulu, ekireetawo enkaayana ezitatadde.

Munnamateeka Simon Syrus Ssebuliba okuva mu Buganda Royal Law Chambers, yayongedde okukakasa nti Obwakabaka buli mu nteekateeka y’okuyamba abantu ba Kabaka okumanya amateeka, naddala agakwata ku nsonga ezibakosezza ennyo.

Abamu ku baami ba Kabaka abaali mu musomo guno kuliko Owek. Samuel Ssemugooma (Mugerere), Owek. Gertrude Ssebuggwawo (Omukwanaganya w’Emirimu mu Ssaza Kooki), n’Omubaka Omukyala owa Mpigi, Teddy Nambooze.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK